Proverbs 20

1 aOmwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi,
era buli alaga mu kkubo ekyamu olw’ebyo talina magezi.

2 bObusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma,
n’oyo amusunguwaza yeefiiriza bulamu bwe.

3 cKya kitiibwa omuntu okwewala entalo,
naye buli musirusiru ayagala okuyomba.

4Omugayaavu talima mu budde butuufu,
kyanaavanga anoonya eby’amakungula nga talina kantu.

5Ebigendererwa ebiba mu mutima gw’omuntu biba ng’amazzi ag’ebuziba,
naye omuntu alina okutegeera alibiggyayo.

6 dAbantu bangi bagamba nti balina okwagala okutaggwaawo,
naye ani ayinza okuzuula omuntu omwesigwa?

7 eOmuntu omutuukirivu, atambulira mu bulamu obutaliiko kyakunenyezebwa;
ba mukisa abaana be abalimuddira mu bigere.

8 fKabaka bw’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka ng’asala emisango,
amaaso ge gasunsulamu ne gaggyamu ebibi byonna.

9 gAni ayinza okugamba nti, “Ntukuzza omutima gwange,
ndi mulongoofu era sirina kibi?”

10 hEbipima obuzito ebitatuuka n’ebigera ebikyamu,
byombi bya muzizo eri Mukama.

11 iOmuvubuka naye amanyibwa olw’ebikolwa bye,
obanga birongoofu era nga birungi.

12 jOkutu okuwulira n’eriiso eriraba
byombi Mukama ye y’abikola.

13 kToyagalanga kwebaka oleme kwavuwala,
tunula, obeerenga n’ebyokulya bingi.

14“Si kirungi, si kirungi,” bw’ayogera agula;
naye bw’agenda n’alyoka yeenyumiririza mu ky’aguze.

15Zaabu n’amayinja ag’omuwendo weebiri,
naye emimwa egyogera eby’amagezi kye ky’omuwendo ekisingako.

16 lOmuntu bw’aleeta ekyambalo kye ne yeeyimiririra gw’atamanyi,
kitwalire ddala, na ddala bw’abanga yeeyimiririra omukazi omubambaavu.

17 mEmmere enfune mu bukyamu ewooma mu kulya,
naye emufuukira amayinja mu kamwa.

18 nKola entegeka nga weebuuza ku magezi,
bw’oba onoolangirira olutalo sooka weebuuze.

19 oOyo agenda ng’asaasaanya olugambo abotola ebyama,
noolwekyo weewale omuntu ayogerayogera ennyo ebitaliimu.

20 pOmuntu akolimira kitaawe oba nnyina,
ettabaaza ye erizikizibwa n’asigala mu kizikiza ekikutte ennyo.

21Eby’obusika ebifune ng’ekiseera kyabyo tekinnatuuka,
ku nkomerero tebiba na mukisa.

22 qToyogera nti, “Nzija kukusasula olw’ekibi kino!”
Lindirira Mukama alikuyamba.

23 rEbipima ebikyamu bya muzizo eri Mukama,
ne minzaani ez’obulimba tezisanyusa.

24 sAmakubo g’omuntu gategekebwa Mukama,
omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lya Mukama?

25 tKyambika eri omuntu okwanguyiriza okweyama eri Mukama,
naye oluvannyuma n’afumiitiriza ku bye yeeyamye.

26 uKabaka omugezi asengejja n’aggyamu abakozi b’ebibi,
n’ababonereza awatali kusaasira.

27Ettabaaza ya Mukama ekebera omwoyo gw’omuntu,
n’enoonya mu bitundu eby’omunda ennyo.

28 vOkwagala n’obwesigwa bikuuma kabaka mu butebenkevu,
era obufuzi bwe bunywezebwa na kwagala.

29 wAmaanyi kye kitiibwa ky’abavubuka,
envi kye kitiibwa ky’abakadde.

30 xEmiggo n’ebiwundu biggyawo ebibi,
n’embooko zitereeza ebifo eby’omunda ennyo.
Copyright information for LugEEEE